Gavumenti eremeddeko nti omusolo ogwatekebwa ku emikutu gi migatta bantu, tebagenda kugyawo wadde okusalibwako.

Okusinzira ku Minisita omubeezi ow’ebyensimbi, David Bahati, buli muntu yenna ayagala okweyambisa Social Media omuli Face Book, Twitter, Instagram, WhatsApp n’emikutu emirala, ateekeddwa okuwa omusolo gwa shs 200 buli lunnaku.

Minisita Bahati bw’abadde ayogerako eri abaamawulire ku Media Center mu Kampala enkya ya leero, okwanjula ebyavudde mu Kabinenti olunnaku olw’eggulo ku Mmande, agambye nti betaaga ensimbi okutambuza eggwanga omuli okunyweza ebyokwerinda, okuzimba amalwaliro, okulongosa enguudo, amassomero era batandiise entekateeka, okutekawo embeera enyangu, okusobozesa buli muntu yenna, ayagala okweyambisa emikutu egyo, okuwa omusolo ng’ayita mu kweyambisa Mobile Money, Airtime n’engeri endala n’okwanguyiza abantu bonna abayinza okuwa omusolo omwaka mulamba.

Ate omusolo ogwatekebwa ku Mobile Money, Minisita Bahati agambye nti sabiti eno ku Lwokuna, bagenda kwanjula enongosereza eri Paalamenti y’eggwanga, omusolo okukyusibwa okuva ku shs 1 ku buli 100 eri abantu bonna abasindiika n’okugyayo ssente okudda ku butundutundu butaano ku buli 100 (0.5 ku 100).