Paasita omugundivu Julius Twebaze myaka 42 owa LiftUp Jesus Church ku kyalo Kisiizi mu disitulikiti y’e Rukungiri, asibiddwa emyaka 7 mu kkomera lwa kusobya ku mwana atanetuuka myaka 12.

Okusinzira ku ludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Richard Muhereza, paasita Twebaze, yasobya ku mwana eyali omuyizi mu siniya esooka (S1) ku Grace High School Kisiizi mu ggombolola y’e Nyarushanje nga 17, Desemba, 2016.

Kigambibwa, Paasita yasendasenda omwana ne by’okulya omwali kabalagala, amaggi, Chapati era bwatyo namuyingiza mu nnyumba, namusobyako.

Omulamuzi Moses Kazibwe akalize Paasita Twebaze emyaka 7 okuba eky’okulabirako eri abantu abalala abasuubira okweyisa mu ngeri y’emu, okusobya ku baana abato.