Ababaka ba Palamenti bawanjagidde omubaka omukyala owe Kabalore Sylvia Rwabwogo okusonyiwa Brian Isiko, eyasindikiddwa mu kkomera ku misango gy’okumukwana.

Isiko muyizi ku YMCA ettabi lye Jinja era kigambibwa nti aludde ng’asindikira omubaka Rwabwogo, obugambo obusomooza nga bwali omukyala omulungi, gwayagala, nga singa omukiriza, yetegese okukola obw’asikaali okumukuuma nga tagenda kwejjusa.

Brian Isiko n'omubaka Sylvia Rwabwogo
Brian Isiko n’omubaka Sylvia Rwabwogo

Sabiti ewedde, omulamuzi Gladys Kamasanyu yasingisa Isiko emisango egyenjawulo omuli okweyambisa essimu ye mu ngeri emenya amateeka era yasindikiddwa mu kkomera e Luzira okumala emyaka ebiri n’emyezi 9.

Ku nsonga eyo, abamu ku babaka ba Paalamenti okuli Kato Lubwama owa Lubaga South, Johnson Muyanja Ssenyonga owa Mukono South, Odonga Otto owa Aruu n’abalala bagambye nti omuntu yenna okwegomba omuntu n’okumukwana ssi musango ng’omubaka Rwabwogo yalina eddembe okukiriza omwana Isiko namugabira ebyalo oba okugaana okumuwa omutima gwe.

Ate akulira oludda oluvuganya gavumenti mu Paalamenti, Winnie Kiiza alabudde famire ya Isiko, okuteseganya n’omubaka Rwabwogo kuba kyekiyinza okuyambako okumugya mu kkomera.