Poliisi y’e Luweero akutte taata ne muganzi we ku by’okutulugunya omwana omuto.

Ivan Kayiza myaka 25, omutuuze ku kyalo Kiyenje mu town council y’e Luweero yakwattiddwa ne muganzi we  Olivia Sserumaga ku by’okudda ku mwana myaka 4, asoma middle class ku Mountain Olive Nursery and Primary School e Luweero ne bamukuba ffeesi yonna era ejjudde amabwa.

Kigambibwa omwana yagaana okukola Home Work eyali amuweereddwa ku ssomero.

Taata Kayiza alumiriza muganzi we Olivia okutulugunya omwana ate n’omukyala alumiriza bba.

Wabula adduumira Poliisi y’e Luweero, Benson Byaruhanga agambye nti wadde Kayiza ne muganzi we Olivia bakwattiddwa ku misango gy’okutyoboola eddembe ly’abaana, balina okunoonya omukyala azaala abaana ku misango gy’okulagajjalira abaana be.