Omuyizi Deusdedit Bwengye owa Bishop Stuart University e Mbarara ng’asoma mateeka atutte mu kkooti enkulu aduumira amaggye mu ggwanga lino (CDF), Ssaabawaabi wa Gavumenti (DPP), Ssaabawolereza wa Gavumenti (AG) n’adduumira enkambi y’amaggye e Makindye ku nsonga z’eyali adduumira Poliisi mu ggwanga lino Gen. Kale Kayihura.

Bwengye agamba nti kimenya amateeka, Gen Kayihura okusibwa omwezi mulamba nga tatwaliddwa mu kkooti, ekintu ekityobola sseemateeka w’eggwanga lino.

Gen Kayihura yakwatibwa nga 13th, June, 2018 okuva mu makaage e Kashagama – Lyantonde era okusinzira ku bakulu mu kitongole ky’amaggye, Kayihura alina ensonga z’alina okwanukula era mu kiseera kino bamukuumira mu nkambi y’amaggye e Makindye.

Omuyizi Bwengye agamba nti bukya Gen Kayihura akwatibwa, ziweze ennaku 35 ekiraga nti abakulu abateekeddwa okwasaganya amateeka, batyobodde eddembe lye.