Omuyizi wa Uganda Christian University (UCU) ettabi lye Mukono, Lillian Rukundo yayimbuddwa olunnaku olw’eggulo ku Lwokubiri nga 17, July, 2018, kakalu ka kkooti ka mitwalo 50 ezitali za buliwo.

Rukundo abadde ku Limanda mu kkomera e Luzira okuva sabiti ewedde ku misango 10 egimuvunanibwa omuli okusasaanya obuseegu nga yeyambisa ebifaananyi bye n’obutambi ekintu ekimenya amateeka.

Lillian Rukundo
Lillian Rukundo

Bwe yabadde asaba okweyimirirwa, Rukundo yategeezeza omulamuzi Mariam Babirye owa Buganda Road, nti mulwadde lwadde nga yetaaga okufuna obujanjabi.

Omulamuzi yamuyimbudde ku mitwalo 50 ezitali za buliwo ate banne abamweyimiridde obukadde 10, 10 ezitali za buliwo.

Oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Emily Ninsiima lwakirizza eky’okuyimbula Rukundo kyoka bategeezeza nti bbo, betegese bulungi ddala n’abajjulizi babwe okulumiriza Rukundo.

Omulamuzi, yalangiridde nga 3, August, 2018 omusango okutandiika okuwulirwa.

Rukundo avunanibwa ne Ashiraf Kato amanyikiddwa nga Arshburg, okwekobaana wakati wa 24 – 25, May, 2018 okusasaanya obuseegu nga beyambisa emitimbagano gya yintanenti nekigendererwa eky’okulumya buli muntu yenna alaba ku vidiyo.

Kkooti y’emu eya Buganda Road, yayimbudde Arshburg sabiti ewedde era ku misango gye gimu, egivunanibwa omuwala Rukundo.

Arshburg
Arshburg

Kinnajjukirwa ku Mmande ya sabiti eno nga 16, July, 2018, abasirikale mu kitongole ky’amakkomera, bategeeza nti Rukundo ali mu mbeera mbi, nga yagwiriddwa ekirwadde kya Asima.