Abantu basatu (3) bafiiridde mu kabenje mu ggoombolola y’e Lugazi.

Akabenje kaguddewo mu kiro ekikeesezza olwaleero mu katawuni k’e Kitega, Tuleera ebadde ku misinde emiyitirivu namba UAR 019C bweyingiridde Land Cruiser namba UAS 343W ebadde egeenda e Jinja.

Abafudde babadde mu Land Cruiser era tebategerekese mannya gaabwe.

Ate abafunye ebisago kuliko Ana Burns, Kimi Toyota ne Jordan Mukisa myaka 5 nga bonna batuuze b’e Jinja okuva mu ggwanga erya Canada era batwaliddwa mu ddwaliro e Mulago nga bali mu mbeera mbi.

Omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Ssezibwa Hellen Butoto agambye nti akabenje kavudde kuvuga ndiima okuva eri Dereeva Joseph Yogani abadde mu Tuleera.

Yogani awereddwa ekitanda mu ddwaaliro e Kawolo okufuna obujanjabi.

Ku lunnaku Olwokusatu abantu 3 bafiira mu kabenje mu bitundu bye Njeru ku luguudo oluva e Jinja okudda e Kampala.