Mu Uganda Eddy Kenzo ye muyimbi yekka alina engule ya BET ate ye muyimbi asinze okutunda Uganda mu nsi yonna olwa vidiyo zafulumya ku nnyimba ze.

Omwaka 2019, Kenzo alina Konsati mwagenda okujjaguliza okuweza emyaka 10 bukya ayingira okuvuganya mu kisaawe ky’okuyimba era ezimu ku nnyimba ezisobodde okumutunda mu nsi yonna kuliko Sitya Loss mu 2014, Zigido mu 2016, Viva Africa mu 2016, Jambole mu 2016, Nze Mutuufu mu 2017, Jubilation mu 2017 n’endala.

Kenzo asobodde okuteeka vidiyo ku Instagram ng’ali mu swagga, azina obuzina ekiraga nti alina kyeyeetegekera okuwa abawagizi be.

Kyoka abamu ku bantu be bagamba nti Kenzo abadde akola dduyiro okwetegekera mukyala we Rema Namakula mu kaboozi okulaga kyalinawo.

Rema Namakula
Rema Namakula

Bwe kiba nga ddala Kenzo abadde yetegekera Rema, alina Work era y’emu ku nsonga lwaki abakyala bangi nnyo bayaayana okuwaayo omukwano gwabwe.

Kyoka bwaba abadde yetegekera vidiyo, kiraga nti Kenzo asukkulumye ku bayimbi abalala bangi nnyo mu ggwanga lino.