Omuyimbi Fik Fameica akikubye ku kirabu Amnesia era abadigize bonna bakiriza nti omwana alina Work mu kukyamula abantu.

Fameica mu kiro ekikeseza olwa leero ku Lwokutaano, abadde awerekeddwako omuzinnyi Wembley era asobodde okuyimba ennyimba ezenjawulo omuli Gwe Abisobola, Property, Kachima, Byenyenya, Mafia, Nze Nkuba, Kutama n’endala, ekiwadde abadigize essannyu.

Byanabiwala okuva mu bitundu bya Kampala ebyenjawulo bibadde birindiridde era bambi binyumiddwa obulamu.

Abamu, bawaliriziddwa okusemberera Fameica okusobola okuzina sikwizi.

Mu Kampala, kirabu Amnesia kye kifo buli mudigize kye yegomba okuliira ssente kuba kirina buli kimu omuli abawereza abalungi, eby’okunywa bya layisi, aba DJ abalungi mu Kampala yonna ate buli sabiti baleeta abayimbi ne bannakatemba abenjawulo okusanyusa abadigize.