•  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  

Omuntu omu attiddwa ate omulala omu anyiga biwundu , abatemu, abambalidde emigemera wala balumbye ekyuma ky’omuceera ekya OBK mu disitulikiti y’e Jinja mu tawuni y’e Jinja ekiro ekikeseza olw’aleero.

Abatemu bakubye ebyasi ebittiddewo abadde akwata ssente Ali Kawesi ate Chris Obokomoyi akubiddwa essasi mu kugulu kwa ddyo era awereddwa ekitanda mu ddwaaliro ekkulu e Jinja ng’ali mu mbeera embi.

Okusinzira ku Mariam Namaganda omu kwabo, aberabiddeko n’agabwe, abatemu babadde ku bodaboda ng’omu kubbo, ayambadde ebyalo ebyefananyirizaako ebya Poliisi.

Mungeri y’emu Namaganda agamba nti Obokomoi wadde akubiddwa sasi era ng’ali mu ddwaaliro y’omu ku batemu, abakulembeddemu okubba ssente n’okutta omuntu.

Ku nsonga eyo, Obokomoi awakanyiza okuba omu kwabo, abakulembeddemu okubba.

Agamba nti akubiddwa asasi olwa babbi okuziyiza emmotoka ebadde egezaako okubawondera okubasuuza omunyago.

Ku ttemu eryakoleddwa, adduumira Poliisi y’e Jinja, Vincent Irama agambye nti basobodde okuzuula yunifoomu ya Poliisi, ssente emitwalo 35, emmundu ekika kya SMG okuva mu kifo, awabadde ettemu.

Mungeri y’emu agambye nti Poliisi, etandikiddewo omuyiggo, omulambo gwa Kawesi gwatwaliddwa mu gwanika ly’eddwaaliro ekkulu e Jinja okwekebejjebwa.


  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •