•  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  

Ssentebbe w’ekibiina kya National Resistance Movement (NRM) era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni ayise bunambiro ababaka ba Palamenti abakabondo ka NRM olunnaku olwaleero mu maka g’obwa Pulezidenti e Ntebbe.

Okuyitibwa, kukakasiddwa Nnampala wa Gavumenti era Omubaka omukyala ow’e Kiboga Ruth Nankabirwa kyoka ensonga enkulu ezigenda okutesebwako zikuumiddwa nga zakyama.

Wabula ensonga enekusifu ziraga nti, kkooti ya kkooti etaputa ssemateeka, eky’okulemesa ababaka ba Palamenti okweyongeza emyaka 2 ku gy’ekisanja okuva kwe 5 okudda ku 7 y’emu kwezo etunuliddwa nnyo okutesebwako leero.


  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •