•  
 •  
 •  
 •  
 •  
 •  
 •  

Omulamuzi wa kkooti enkulu e Luweero Olive Karazarwe, olunnaku olw’eggulo ku Lwokuna yasindise omulema Moses Ssekito mu kkomera lwa kusobya ku mukadde myaka 65.

Ssekito myaka 19 mutuuze ku kyalo Bukatira mu ggoombolola y’e Kito mu disitulikiti y’e Nakaseke, yasobya ku mukadde mu 2015 era yasibiddwa emyaka 7 olw’ekikula kye.

Okusinzira ku ludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Hussein Nasur Ntalo, nga 21, August, 2015, Ssekito yamenya enju y’omukadde, namusobyako ku kyalo kyekimu.

Mu kkooti, omulema Ssekito yegaanye eky’okusobya ku mukadde era nategeza nti bamuwayiriza.

Omulamuzi Karazarwe yagambye nti omukadde ku myaka gye 65 tayinza kuvaayo nategeeza nti bamusobezaako.

Mungeri y’emu yategezeeza nti omukadde okulonkoma omulema Ssekito ku batuuze bonna abali ku kitundu, kabonero akalaga nti tayinza kuwayiriza.


 •  
 •  
 •  
 •  
 •  
 •  
 •