Munnamawulire wa NTV Uganda, Faridah Nakazibwe ayongedde okulaga bba Dr. Omar Ssali ebisoko by’omukwano, ekiraga nti buli muntu yenna alina okusosowaza ennyo ensonga z’amaka.

Nakazibwe asobodde okweyambisa oluyimba lwa Rema Namakula olwa “Tikula” okutegeeza bba Dr. Omar nti ali mu mukwano era alina obudde era ali mu “Mood”, alowooza ku ye buli lunnaku.

Faridah Nakazibwe ne bba Dr. Omar Ssali
Faridah Nakazibwe ne bba Dr. Omar Ssali

Munnamawulire Nakazibwe abadde musanyufu nnyo ng’ali ne bba mu mmotoka ekiraga nti abadde amusubwa nnyo mu buli ngeri zonna ate kiraga nti balina omukwano mu bufumbo bwabwe.

Nakazibwe ayongedde okulaga abakyala nti wadde balina emirimu era balina ssente, omukwano gusinga byona.

????

A post shared by faridah (@fsnakazibwe18) on