Munnamateeka Kassim Male Mabirizi addukidde mu kkooti ya sseemateeka okuwakanya eky’okuwozesa omubaka w’e Kyadondo East Robert Kyagulanyi Sentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine mu kkooti y’amaggye ate nga ye muntu w’abuligyo.

Mabirizi agamba nti, kimenya mateeka, omuntu wa buligyo okutwalibwa mu kkooti y’amaggye nga n’emisango gyona egivunanibwa Robert Kyagulanyi Sentamu gitwalibwe mu kkooti z’abantu babuligyo.

Bobi Wine
Bobi Wine

Mu kwogerako eri bannamawulire mu Kampala, Mabirizi agambye nti abantu bonna abavuganya Gavumenti eno, bolekedde okugulwako emisango nti basangiddwa n’ebyokulwanyisa n’ekigendererwa eky’okutwalibwa mu kkooti y’amaggye okubanafuya.

Mabirizi agamba nti emisango bw’egityo, mu kkooti z’abuligyo singa emisango gimusinga, ayinza okusibwa emyaka 7 kyoka mu kkooti y’amaggye, asindikibwa kalaba oba okusibwa amayisa.

Agamba nti ky’ekiseera okuvaayo okuwakanya eky’abantu babuligyo okutwalibwa mu kkooti y’amaggye.