Omubaka we Mityana Francis Zaake aguddwako omusango gw’okutoloka mu kkomera, oluvanyuma ayimbuddwa kakalu ka Poliisi enkya ya leero.

Okusinzira ku kiwandiiko kya Poliisi ekirabiddwako omukutu gunno, nga kisayiningiddwa nga 3, September, 2018, Zaake ateekeddwa okweyanjula ku kitebe kya Poliisi ekinoonyereza ku misango ekya Criminal Investigations Department nga 3, October, 2018.

Ekiwandiiko kya Poliisi
Ekiwandiiko kya Poliisi

Poliisi egamba nti Zaake aganye okuteeka omukono ku kiwandiiko mu maaso ga munnamateeka we Nicholas Opio.

Mu kiseera kino, atwaliddwa ku kisaawe Entebbe okusobola okugenda ebweru w’eggwanga okufuna obujanjabi.

Omubaka Zaake y’omu ku babaka abakubwa mu bitundu bya Arua ku bigambibwa nti bakuba amayinja emmotoka y’omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni, ndabirwamu neyiika.

Emu ku mmotoka ya Pulezidenti eyakubwa
Emu ku mmotoka ya Pulezidenti eyakubwa

Banne okuli Robert Kyagulanyi Ssentamu ( Bobi Wine), Paul Mwiru, Kassiano Ezati Wadri n’abalala bali ku musango gwa kulya mu nsi lukwe.