Omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni olunnaku olw’eggulo ku Ssande yatuuse mu ggwanga erya China mu kibuga Beijing mu lukungana olwa Forum on China-Africa Cooperation (FOCAC).

Olukungana lugendereddwamu okutumbula enkolagana wakati wa Africa ne China n’okusingira ddala mu byenkulakulana.

Pulezidenti Museveni yawerekeddwako mukyalawe era minisita w’ebyenjigiriza n’emizannyo Janet Kataha Museveni.