Okuwuliriza emisango egivunaanibwa eyali Ssaabaduumizi wa Poliisi mu ggwanga Gen Kale Kayihura,  kusubirwa okutandiika enkya ya leero mu kkooti y’amaggye e Makindye.

Gen Kayihura avunanibwa emisango egyenjawulo omuli okuwa abantu baabulijjo ebyokulwanyisa omuli emmundu, okulemwa okunnyonnyola ekyamuteesaawo ebitongole by’okwerinda eby’enjawulo omuli Flying Squad n’ebirala n’okuzzaayo bannansi ba Rwanda abadduukiranga mu Uganda okubudamizibwa mu kiseera ng’addumira Poliisi mu ggwanga lino kyoka emisango gyonna yagyegaana.

Lt Gen Andrew Gutti
Lt Gen Andrew Gutti

Bannamateeka ba Kayihura nga bakulembeddwamu Peter Kabatsi, bebagenda okuwakanya emisango egyamugulwako, oludda oluwaabi lukulembeddwamu Maj. Raphael Mugisha nga bateekeddwa okuteeza kkooti webatuuse mu kunoonyereza ate kkooti egenda kulemberwa ssentebbe waayo Lt Gen Andrew Gutti.

Gen Kale Kayihura yayimbulwa kakalu ka kkooti ka bukadde 10, ezitali za buliwo sabiti ewedde oluvanyuma lw’ennaku 72 ng’asibiddwa mu kkomera ly’amaggye e Makindye.