Poliisi y’e Kalungu e Kutte abasajja babiri (2) ku ttemu eryakoleddwa ku John Kulabirawo myaka 47 era abadde omusuubuzi w’emwannyi omugundivu mu kitundu kyabwe.

Kulabirawo yattibwa ku Ssande mu maka ge, ku kyalo Kigasa B mu ggoombolola y’e Kyamuliibwa ku ssaawa 5 ez’ekiro.

Okumutta, bamusanga mu kinabiro ng’anaaba era kigambibwa nti ezimu ku ssente z’omugenzi zatwaliddwa, oluvanyuma ennyumba bagikumyeko omuliro okubuzabuza obujulizi.

Omubiri gw’omugenzi gwasangiddwa Poliisi n’abatuuze mu kitaba ky’omusaayi nga gusaliddwa ebijjambiya ku mutwe, omugongo n’emikono.

Abakwattiddwa kuliko Ronald Ssemwogerere ne mukwano gwe Richard Jjingo era omusango bagwegaanye.

Okusinzira ku Mable Tweheyo akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango ku Poliisi y’e Kalungu, Ssemwogerere ne Jjingo bakwattiddwa okuyambako Poliisi mu kunoonyereza.