Munnakatemba omugundivu, omuyimbi era omubaka wa Lubaga South mu paalamenti Kato Lubwama ayambalidde abawagizi abaakubye omuyimbi Moses Ssali amanyikiddwa Babe Cool obucupa bwe yabadde ayimba mu kivvulu nga ab’ekibiina kya Swangz Avenue, bajjaguza okuweza emyaka 10 mu kisaawe ky’okuyimba sabiti ewedde ku lunnaku Olwokutaano.

Kato Lubwama
Kato Lubwama

Kato Lubwama agamba nti abo abawagizi abatalina mpisa balekere awo okugenda mu bivvulu byabwe kuba bagenda kuvirako okusanyalaza ekisaawe ky’okuyimba.

Mungeri y’emu agambye nti okutandika okuyingiza ebyobufuzi mu bivvulu by’abayimbi kibi nnyo era kyandyonoona ekisaawe ky’okuyimba ekibadde kitandise okukula wano mu Uganda n’ensi yonna.