Eyali bba w’omukyala Zari Hassan, Diamond Platinumz okuva mu ggwanga erya Tanzania, abadde mu Uganda ekkiro ekikeseza olunaku lwa leero ku Lwokutaano.

Okusinzira ku vidiyo ku mutimbagano gwa ‘facebook’ ogwa MC Kats omukozi ku NBS, Platinumz abadde ku kabaga ka mazaalibwa ak’omuwala ategerekeseko erya Jackie mu bitundu bye Nkumba Entebbe era ketabiddwako abantu batono nnyo.