Omubaka we Kyadondo East mu Paalamenti Robert Kyagulanyi Ssentamu, amanyikiddwa Bobi Wine, akaatiriza nti sabiti eno ku Lwokuna, nga 20, September, 2018 agenda kudda mu Uganda okutambuza emirimu gye.

Bobi myaka 36 eyagenda mu ggwanga erya Bungereza okufuna obunjanjabi agamba nti okudda kwe, agenda kutandikirawo okusomesa abantu ebikwata ku “People Power” kuba waliwo abakiyingiddemu, okubuzabuza abantu.

Bobi Wine ne Yoweri Kaguta Museveni
Bobi Wine ne Yoweri Kaguta Museveni

Mungeri y’emu agambye nti, bbo nga abagala enkyukakyuka tebayinza kwenyigira mu ffujjo kyoka waliwo abbo, abayingidde mu ntekateeka zabwe nga befudde abawagizi ba People Power, okubasiiga enziro mu ggwanga.

Ku kya Robert Kyagulanyi Ssentamu okudda mu Uganda sabiti eno, Gavumenti emwanukudde nti okudda kwe, talina kufuula nsonga.

Omwogezi wa Gavumenti Ofwono Opondo, agambye nti Gavumenti yakumuwa obukuumi okuva ku kisaawe Entebbe, obugwa mu kitiibwa kye.