Kyaddaki musajja wa Katondo paasita Wilson Bugembe myaka 34 atabukidde muyimbi munne Rema Namakula ne bba Eddy Kenzo okulwawo okukuba embaga.

Paasita Bugembe owa Light the World Ministries e Nansana agamba nti yewaddeyo okugata Rema ne Kenzo mu bufumbo obutukuvu.

Eddy Kenzo
Eddy Kenzo

Kenzo ne Rema balina omwana kyoka tebanaba kweyanjula mu bazadde ekiraga nti obufumbo bwabwe bwa kawundo kakubye eddirisa.

Kyoka Rema bwabuziza Paasita Bugembe embaga, agambye nti entekateeka zikolebwa.