Obutakkaanya bubaluseewo wakati w’omubaka we Kyadondo East, Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine ne Poliisi ku ntekateeka y’olunnaku olw’enkya ku Lwokuna.

Bobi enkya ku ssaawa 4 ez’okumakya asuubirwa okutuuka ku kisaawe Entebbe okuva mu ggwanga erya America gy’abadde yaduukira okufuna obujanjabi oluvanyuma lw’okubwa mu bitundu bya Arua.

Wabula enkya ya leero, omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Emilian Kayima, agambye nti enkya aba famire bebagenda okukirizibwa okwaniriza Bobi Wine ku kisaawe Entebbe, oluvanyuma awerekerwa Poliisi okutuuka mu makaage.

Kayima bw’abadde eyogerako eri bannamawulire ku kitebe kya Poliisi e Naguru enkya ya leero, agambye nti tewali muntu yenna agenda kukirizibwa kutataaganya byantambula ku luguudo lw’ENtebbe n’emirimu gy’abasuubuzi era tewali muntu yenna gwebasubira kukyankalanya Poliisi.

Ku nsonga eyo, Bobi Wine asobodde okweyambisa omukutu ogwa Face Book, okutegeza Poliisi okomya okweyingiza mu nsonga ezitabakwatako.

Bobi agamba nti Poliisi teteekeddwa kumutegeza bantu abalina okumwaniriza.

Agamba nti olunnaku olw’enkya mikwano gye, bannabyabufuzi n’abayimbi bebagenda okumwaniriza, aba famire bagenda kusigala waka.

Agamba nti mu kiseera kino ali Amsterdam mu ggwanga erya Netherlands era Poliisi eteekeddwa okumwesonyiwa.
Okusinzira ku Bobi, enkya olunaava ku kisaawe Entebbe, agenda kulambula ku jjajjaawe omulwadde Najjanankumbi oluvanyuma agenda mu bitundu bye Kamwokya okulya eky’emisana ne famire ye.
Bwanaava e Kamwokya, ayolekera amakaage agasangibwa e Magere.
Agamba nti munnayuganda era alina eddembe lye okutambula mu ggwanga lyona nga tewali amulemesa era terina buyinza kweyingiza mu nsonga ze.

Ku Face Book, Bobi Wine agambye bwati