MINISITA omubeezi avunaanyizibwa ku nsonga z’abavubuka n’abaana Florence Nakiwala Kiyingi alabudde abavubuka obutagezaako kwekalakaasa wadde okwegata kwabo abagenda okwaniriza omubaka we Kyadondo East mu Paalamenti Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine.

Minisita Nakiwala agamba nti Poliisi yetegese okukwata abavubuka abageenda ku kisaawe Entebbe kuba Poliisi yalabudde.

“Bageenda kubakwata mutwalibwe mu kkomera, mufiirwe emirimu, Bobi alina emirimu era afuna omusaala buli mwezi”, Minisita Nakiwala bwatyo bwalabudde.

Bobi Wine asuubirwa okutuuka ku kisaawe Entebbe, ku ssaawa 4 ez’okumakya okuva mu ggwanga erya America, gy’abadde yaduukira okufuna obujanjabi oluvanyuma lw’okukubwa mu bitundu bya Arua.