Abantu abatanamanyika balabudde okutta omubaka w’ekibuga Ntungamo Gerald Karuhanga kyoka ensonga temanyiddwa.

Omubaka Karuhanga agamba nti bamusindikidde obubaka ku ssimu nga beeyambisa omukutu ogwa MTN  nti essaawa yonna bageenda kumutta.

“Musaazi afudde, gwe addako” omubaka Karuhanga bwatyo bwagamba.

Karuhanga era agamba nti wadde bagala kumutta, tewali muntu yenna ayinza kumugya ku mulamwa okulwanirira ensonga z’abantu.

Kinnajukirwa nti Karuhanga, Bobi Wine y’omu ku bantu abasuuka 30 abakwatibwa mu bitundu bya Arua nga 13, August, 2018 era bagulwako emisango omuli okulya mu nsi olukwe.