Gavumenti esuubiza okwongera okunyweza ebyokwerinda mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo, okutangira abantu abalina effujjo, okutabangula emirimu nga bakozesebwa bannabyabufuzi abalondeddwa mu bifo ebyenjawulo eby’obukulembeze.

Olunnaku olw’eggulo, Poliisi n’amaggye bayiriddwa mu bitundu bya Kampala n’emirirwano, okutangira abantu okwenyigira mu bikolwa ebikyamu mu kiseera ng’omubaka we Kyadondo East mu Paalamenti Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine akomawo okuva mu ggwanga erya America gye yali yageenda okufuna obujanjabi kuba y’omu kwabo abaakubwa mu bitundu bya Arua nga 13, August, 2018 nga bakomekereza okunoonya akalulu k’omubaka w’ekitundu ekyo era Kassiano Ezati Wadri (talina kibiina) yakawangula okudda mu bigere bya Ibrahim Abiriga eyali owa NRM eyattibwa.

Ekkiro ekikeseza olunaku lwa leero, omwogezi wa Gavumenti Ofwono Opondo abadde ku NBS TV mu Pulogulamu NBSfrontline era agambye nti okuteeka abasirikale mu Kampala kyabadde kyetaagisa era kaabadde kabonero akalaga nti Gavumenti teyinza kukiriza bumenyi bw’amateeka naddala obutegekeddwa abakulembeze abalonde.

Mu lungereza, Opondo agambye nti “This security deployment was worth it and a signal that impunity and criminality will not be accepted especially that organized by elected leaders will not be tolerated”.