Omubaka we Kyadondo East mu Palamenti Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa ng’omuyimbi Bobi Wine ayaniriziddwa nga muzira mu ggwanga erya Kenya ekkiro ekikeseza olunaku lwa leero.

Bobi agenze ku mirimu emitongole mu byobufuzi mu Kenya ng’ayitiddwa ab’oludda oluvuganya era basuubira okukuba enkungana ezenjawulo.

Okusinzira ku bannansi mu Kenya, Bobi Wine akyali muvubuka era balina esuubi nti y’omu ku bavubuka abagenda okutandikirwako okuleeta enkyukakyuka mu Africa.

Mu Kenya, Bobi Wine agenda kwegatibwako omubaka Babu Owino.