Omugagga Bryan White atabukidde bannayuganda abagamba nti omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni yamuwa ssente okutambuza emirimu gye.

Bryan agamba nti ye musajja mukozi nnyo era buli ssente zalina yazeekoledde.

Mungeri y’emu agamba nti wadde abantu bamwogerera, alina okukola ennyo okulwanyisa ebiragalaragala omuli enjaga mu bavubuka kuba bangi bakozeseddwa ebintu ebikyamu.

Omugagga Bryan White era asabye abantu okukomya okulumbagana omukulembeze w’eggwanga lino Museveni nti alemeddwa okukola emirimu ate ng’alina baminisita bangi abalemeddwa okukola emirimu gyabwe.

Okubyogera, yabadde ku Spark TV mu pulogulamu Koona.