Golola Moses Kawandula bigambo asemberedde okuwumula ensabaggere oluvanyuma lw’okukubwa Umar Ssemata.

Olulwana luno lubumbujjidde ku Freedom City mu kiro ekikeesezza olwaleero era nga lunyumidde nnyo abalabi olw’ensonga nti abawagizi ba side zombi obwedda bawaga okuva olulwana bwe lwatandise ppaka kuggwa.

Umar Ssemata awangudde
Umar Ssemata awangudde

Ssemata amaze ebbanga ng’asaba Golola ng’agamba nti amwewulira era waliwo enguumi gye yakubye Golola n’alandinga ku ttaka abawagizi ba Golola ne bakwata ku mutwe wabula oluvannyuma Golola yasituse naye n’atandika okumukasukira enguumi n’ensambaggere ez’okumukumu.

Wadde Golola yasobodde okugezaako okuwangula, Ssemata yamusinze obukodyo era namuwangula.

Battunkidde mu buzito bwa ‘Middle’ mu nnwana eya K1 ekozesa amaviivi, teke n’ebikonde ng’eddenge evvanyuma lyagenze okukommontebwa ng’olulwana Ssemata aluwangulidde ku bubonero.

Ssemata awezeza enwana 78  kw’awangudde 45, n’awangulwa 30, amaliri 3 ate Golola awezeza enwana 42, awanguddeko 36, akubiddwa 5.

Semata ye munnauganda asoose okukuba Golola.