Kyaddaki ssentebbe w’ekibiina kya National Resistance Movement (NRM) era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni akawangamudde nti eky’okusengula abantu be Buduuda, eby’okuteesa biweddewo era abantu bonna  bateekeddwawo okugibwawo.

Museveni agamba nti abantu bangi bafudde nga kivudde ku batuuze okugyema okusenguka ne Gavumenti ensonga okugikwata akasoobo.

Bwe yabadde akubagiza abatuuze abafiriddwako abaabwe  mu bitundu bye Buduuda sabiti ewedde, abasukka 40 mu kisaawe kye Bukalasi, olunnaku olw’eggulo, Museveni yakaatiriza nti ku mulundi guno, abatuuze bonna bagenda kusengulayo e Buduuda kuba akooye abantu okufa mu ngeri bwetyo.

Mungeri y’emu yetoonze olw’abakulu mu Gavumenti okumukozesa ensobi kuba singa abantu bonna bavaayo dda e Buduuda.

Ku mukutu ogwa Face Book, Museveni asobodde okuwa ensonga ezenjawulo “On return from London, I went to Bududa District to assess the havoc wreaked by the recent landslides and also condole with the families that lost their loved ones.

On government’s behalf I apologize for the delayed resettlement of those living in landslide-prone areas to safer places, and commit that this process will be fast-tracked to avoid any further casualities.

I was let down by my people. I apologize on their behalf. A plan was made and the people had agreed to move but it seems there was lack of coordination in government. I apologise for this, we are now going to move very fast.

That said, I still caution you against tampering with nature. I have severally spoken about the dangers of cultivating on these mountainous slopes. Some of you had settled and were cultivating on river banks. We should not provoke mother nature”.