Poliisi y’e Kasasa mu disitulikiti Kyotera etandiise okusamba ensiko okunoonya abatemu babiri (2), abayingiridde amaka ne batematema abantu.

Ssemaka Mulokozi Israel ne mukyala we Aneriya Mutoni nga batuuze ku kyalo Kabano B mu ggoombolola y’e Kasasa, balumbiddwa abatemu ekkiro ekikeseza olunaku lwa leero ne batandiika okubatematema.

Kigambibwa abatemu babasibidde mu nnyumba ne balinda ssemaka Mulokozi okudda ekiro okuva ku mirimu gye, kwekutandiika obutemu bwabwe.

Abaduukirize nga bakulembeddwamu Jane Ndagire, omuwandiisi ku nsonga z’abakyala ku kyalo agambye nti bawulidde emiranga obudde obw’ekiro era webatuukidde ng’abatemu badduse.

Ndagire era agambye nti Mulokozi n’omukyala Mutoni bonna batemeddwa nnyo era omusajja bamutemyeko engalo kyoka tewali kintu kyonna kyatwaliddwa.

Abatemeddwa mu kiseera kino bawereddwa ekitanda mu ddwaaliro lye Kyotera nga bali mu mbeera mbi.

Omwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Greater Masaka Lameck Kigozi agambye nti okunoonyereza kutandiise era awakanyiza ebigambibwa nti abatemu bazemu okutigomya abatuuze nga bwe gwali omwaka oguwedde ogwa 2017.