Kkooti y’amaggye etuula e Makindye erangiridde nga 6, November, 2018 okuwa ensala yaayo oba Abdullah Kitatta anakirizibwa okweyimirirwa.

Kitatta yakulembera akabinja ka Bodaboda 2010 era ye ssentebbe wa NRM e Rubaga yakwattibwa ku misango egyenjawulo omuli okusangibwa n’ebyokulwanyisa eby’amaggye omuli amasasi, emmundu n’ebirala mu ngeri emenya amateeka.

Kitatta ne banne mu kaguli
Kitatta ne banne mu kaguli

Olunnaku olw’eggulo, omu ku bannamateeka ku ludda oluwaabi Captain Samuel Masereje yawanjagidde ssentebbe wa kkooti Lt. Gen. Andrew Gutti obutagezaako wadde kuyimbula Kitatta kuba alemeddwa okuleeta ensonga ez’omugundu.

Kitatta yawaayo ensonga ezenjawulo omuli alina amaka gateekeddwa okulabirira, mulwadde n’ensonga endala.

Wabula oludda oluwaabi lugamba nti Kitatta alemeddwa, okumatiza kkooti nti obulwadde bwe, tebasobola kubujjanjabira mu kkomera gyali ate singa ayimbula ayinza okutaataganya okunoonyereza n’obujjulizi.

Lt. Gen. Andrew Gutti
Lt. Gen. Andrew Gutti

Ku nsonga eyo, ssentebbe wa kkooti Lt. Gen. Andrew Gutti kweyasinzidde okulangirira nga 6, November, 2018 okuwa ensala ye.

Bukya Kitatta akwattibwa ne banne 12, bakulungudde ku limanda emyezi egisukka mu 8.