Poliisi etandiise okunoonyereza ku lukalala okuli amannya g’abantu  16 oluyitingana nti essaawa yonna bagenda kutibwa.

Abamu ku balangiriddwa okuttibwa kuliko omubaka wa Lubaga North Kasibante Moses, omubaka we Kyadondo East, Robert Kyagulanyi ssentemu amanyikiddwa nga Bobi Wine, Kawempe South Mubarak Munyagwa Mugati gwa batta, Ntungamo Municipality, Gerald Karuhanga, omuloodi wa Kampala Ssalongo Erias Lukwago, Minisita wa Kampala Beti Olive Namisango Kamya-Turomwe.

Abalala kuliko Jjajjaw’obusiraamu mu ggwanga Al Haaji Dr.Kassim Nakibinge, Katikkiro wa Buganda munnamateeka Charles Peter Mayiga, amyuka omwogezi wa Poliisi Patrick Onyango n’abalala.

Emilian Kayima
Emilian Kayima

Wabula omwogezi wa Poliisi mu ggwanga, Emilian Kayima, agambye nti batandiise okunoonyereza, okuzuula abakulembeddemu okusasaanya amannya g’abantu abo n’ekigendererwa kyabwe.