Omuyimbi Eddy Kenzo ayongedde okulaga nti ebigambo by’abantu tebigenda kumuggya ku mulamwa okutumbula abayimbi abato n’ekisaawe ky’okuyimba.

Kenzo y’omu ku bayimbi mu Uganda abakwatiridde eby’okuyimba olw’ennyimba ze omuli Sitya Loss, Zigido, Mbilo Mbilo, Viva Africa n’endala.

Pia Pounds
Pia Pounds

Kenzo alina omukyala Rema Namakula era balina omwana kyoka bangi ku bannayuganda bagamba nti Kenzo akubirira sumbusa y’omuyimbi Pia Pounds ali mu kibiina kye ekya Big Talent era mbu balina obutakaanya n’omukyala Rema.

Wadde abantu boogedde ebigambo ebyo, Kenzo asobodde okweyambisa omukutu ogwa Face Book, okutegeza abagoberezi be nti essaawa yonna Pia agenda kufulumya vidiyo y’oluyimba “DELICIOUS”, ekiraga nti ebigambo tebiyinza kumuggya ku mulamwa.