Gen Kale Kayihura eyali addu umira Poliisi mu ggwanga lino akakasiza nti musajja atambulira mu mateeka ku buli nsonga yonna.

Ku Mmande ya sabiti eno, nga 22, October, 2018, Gen Kayihura yasobodde okweyanjula eri omuwandiisi wa kkooti y’amaggye Maj. John Bizimana okutukiriza obukwakkulizo obwamussibwako okweyanjulanga oluvannyuma lwa wiiki bbiri buli mwezi bwe yali emuyimbula ku kakalu ka kkooti.

Gen Kayihura yatambulidde mu mmotoka eyamuweebwa ministule y’ebyokwerinda nnamba UG 2016D ng’awerekerwa kabangali eyabadde emuvaako emabega.

Kimanyiddwa nti Kayihura avunaanibwa emisango 3 omuli okulemererwa okubalirira emmundu n’ebyokulwanyisa bwe yagabira abantu abenjawulo emmundu okuli ne ssentebe wa Bodaboda 2010 Abudallah Kitatta, ebitongole okuli Flying Squard , Specialized Operations Unit, Witness Protection Unit, Crime Intelligence mu poliisi n’ebirala.

Mungeri y’emu avunaanibwa okuyambako mu kuwamba bannansi ba Rwanda abaali banoonya obubudamu mu Uganda nga babazza e Rwanda.

Yayimbulwa nga August 28, 2018 oluvannyuma lw’ennaku 72 mu kkomera ly’amaggye e Makindye.