Mu nsi yonna abazadde bagala nnyo okulambika abaana babwe era y’emu ku nsonga lwaki Frank M.Gashumba yabonereza muwala we Sheila Gashumba gye buvuddeko.

Gashumba agamba nti tewali muntu yenna ayinza kumulemesa kubonereza Sheila kuba kimukakatako ng’omuzadde.

Wabula Sheila ayongedde okulaga nti tewali muntu yenna ayinza kumulemesa kweyagala kuba akyali mwana muto nnyo era alina okulya obulamu.

Wadde bangi bagamba nti ali mu mukwano n’omuyimbi Fik Fameica, ye agamba nti amattira nnyo ennyimba ze (Fik) era y’emu ku nsonga lwaki abantu bamumusibako.

Sheila ayongedde okulaga nti asobola okukola ebintu ebyenjawulo omuli n’okuzina era asobodde okukwata vidiyo ng’azina oluyimba lwa A Pass.

Omwana alina Work are asobodde okunyenya ekiwato, ekiwadde abantu essannyu.

Abamu ku bantu bagambye nti Sheila atandiise okusikiriza Apass kuba mbu bamukuba emiggo okwesonyiwa Fik Fameica.