Omuyimbi Winnie Nwagi wadde y’omu ku bakyala abayimbi obulungi, kyoka bangi ku basajja bamwegombako mubiri gwe.

Nwagi alina ennyimba ezenjawulo omuli Kano Koze, Katono Katono, Musawo, Kibulamu, Magic n’endala era kimufudde omukyala omumanyifu mu Uganda n’amawanga amalala.

Wabula Nwagi bwe yabadde ku Comedy Store ategekebwa munnakatemba Alex Muhangi ku UMA Show Ground e Lugogo buli Lwakuna, yakyamudde abadigize bonna era bonna bakiriza nti omwana alina “Work”.

Muhangi yasobodde okusendasenda Nwagi okuzinira abantu n’okunyeenya ekiwato n’akabina okuwa abantu bonna essanyu.

Wabula omutegesi Wa komedi Muhangi yalemereddwa okusiba omutima era yagudde wansi okulingiza Nwagi.

Abamu ku badigize, bayambalidde Muhangi nti waaya emutabuseeko ng’alina okulingiza ku Nwangi okusobola okukakana.