Kyaddaki omubaka we Kyadondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine ayanukudde abalemeddeko nga bebuuza oba 2021 agenda kwesimbawo ku bwa Pulezidenti bw’eggwanga lino Uganda okuggya Yoweri Kaguta Museveni mu ntebe.

Bobi Wine asinzidde mu kivvulu ky’oluyimba Kyarenga okutegeza nti buli muntu ateekeddwa okwetaba mu kuleeta enkyukakyuka mu ggwanga.

Wadde yabadde ayimba, yasobodde okutegeza abantu bonna okwewandiisa okufuna densite y’eggwanga, basobole okwetaba mu kulonda kwa 2021 okulonda Pulezidenti w’eggwanga kuba emyaka wasigadde ebbiri gyoka, ekyawadde abantu essannyu.