Kyaddaki omuyimbi Alexander Bagonza amanyikiddwa nga Apass ayogedde amazima lwaki y’omu ku bayimbi abatagenze ku One Love Beach Busabala mu kivvulu ky’oluyimba Kyarenga olwa Bobi Wine.

Apass agamba nti teyayitiddwa era y’emu ku nsonga lwaki teyagenze mu kivvulu kuba yabadde tayinza kwetwala.

Apass amanyikiddwa olw’ennyimba ze omuli Gamululu, Didadada, Mummy, Wuuyo, Sugar Girl n’endala era y’omu ku bayimbi ababadde basubirwa okuyimba kuba mukwano gwa Bobi Wine nnyo era y’omu ku bayimbi abeegata ku Bobi Wine mu kiseera nga bawakanya omusolo ku mitimbagano omuli Face Book, Twitter, WhatsApp n’emirala ogwa shs 200 buli lunnaku.