Kyaddaki omuyimbi Chosen Becky ayawukanye ne manejja we Victor Kamenyo.

Becky y’omu ku bayimbi abato abatunda ennaku zinno olw’ennyimba ze omuli Bankuza, Aliba Ani, Byabangi n’endala.

Wabula abadde manejja we Kamenyo agambye nti tewali nsonga yonna lwaki bawukanye ne Becky wadde babadde balina endagano ya myaka 10.

Mungeri y’emu agambye nti Becky muwala mukulu era alina okwesalirawo ekiyinza okumuyamba mu kisaawe ky’okuyimba era bakyali bamukwano.

David Lutalo
David Lutalo

Becky yegase ku bandi y’omuyimbi David Lutalo era bangi ku bannayuganda bagamba nti Lutalo agenda kuyamba nnyo Becky mu kisaawe ky’okuyimba kuba musajja muwandiisi wa nnyimba.