Omukyala Zulaina Kyakuwaire myaka 37 nga mutuuze we Kidera mu Busoga, awanjagidde abakulembeze okumuyamba oluvanyuma bba, Juma Kirya okumusuula mu nnyumba.

Kyakuwaire agamba nti bba yaduuka oluvanyuma lw’okuzaala omwana aliko emikono 3, ebigere 3 n’ebitundu by’ekyama bya mirundi ebbiri (2) okuli eky’omusajja ne ky’omukyala, nga kati omwana wa myezi 6.

Omukyala asangiddwa ng’ali mu maziga, agamba nti yataaga obukadde 50, okulongosa omwana we mu ddwaaliro ekkulu e Jinja, ekimusindikiriza okusaba abantu abenjawulo nga bakulembeddwamu omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni okumuyamba, okutaasa omwana we.

Abalala abasabiddwa okumuyamba mulimu ababaka ba Palamenti, Sophia Namutebi (Maama Fiina), Sheikh Umar, omugagga omugagga Brian White (Brian Kirumira) n’abantu abalala.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano Luke Owoyesigire agamba nti omusajja Kirya alina omusango okulagajjalira omwana we era Poliisi etandiise okumuyiga.

Alina Obuyambi, essimu 0757478127