Omusawo omuzaalisa mu ggwanga erya Malawi, ayimiriziddwa ku mirimu gye, bwe yekubye ekifaananyi n’essimu mu nkola eya “Selfie” ng’ali mu kisenge, abakyala mwe bazaalira.

Omusawo (naye amannya gasirikiddwa) yakutte essimu ne yeekuba ekifaananyi ng’ali mu ssannyu ate nga emabega we waliwo omukyala alumwa asemberedde okuzaala, nga yenna ali bukunya.

Okusinzira ku mwogezi wa minisitule y’ebyobulamu, Joshua Malango, omusawo oyo, asindikiddwa mu kakiiko k’empisa ak’abasawo okumunonyerezaako naye okwewozaako.

Ekifaananyi kyongedde okusanikira emitimbagano gya yintanenti omuli Face Book era bangi ku bakyala batabukidde omusawo n’eddwaaliro nga bagamba nti ekyakoleddwa kityoboola eddembe lyabwe n’okuwebuula ekitiibwa kyabwe.