Poliisi y’e Lugazi ekutte omuvubuka ategerekese nga Makanga Remmy myaka 16 lwa kusobya ku mwana.

Makanga mutuuze w’e Namatogonya, Najjembe mu disitulikiti y’e Buikwe bamusanze lubona abatuuze mu bikajjo ng’atunuza ebbujje myaka 10 mu mbuga ya sitaani.

Omwana akubye enduulu, olw’obulumi bwa waaya, esombodde abatuuze okumutaasa ku Makanga.

Makanga akubiddwa abatuuze okutuusa Poliisi lw’eyitiddwa era bagenze okumutaasa ng’afuuwa musaayi n’okwogera ebitakwatagana.

Omwogezi wa poliisi mu Ssezibwa Hellen Butoto akakasiza okukwatibwa kwa Makanga ku musango gw’okusobya ku mwama omuto era essaawa yonna wakutwalibwa mu kooti abitebye.