Ssemaka Flugensio Ssebandeke myaka 53 asindikiddwa ku Limanda mu kkomera e Luzira ku misango gy’okusobya ku muzzukulu we, myaka 11.

Ssebandeke, avuga bodaboda era mutuuze we Kabowa mu disitulikiti y’e Kampala, yasindikiddwa ku Limanda.

Okusinzira ku ludda oluwaabi, nga 29, Desemba, 2015, Ssebandeke yakwata muzzukulu we, kyokka omusajja alina sirimu.

Kigambibwa Ssebandeke yasaba muzzukulu we beebake bombi omwana nagaana kyokka oluvanyuma yamusaba bagenda bombi ku dduuka okukima ssukkali.

Mu kutambula, Ssebandeke yakwata omuzzukulu, namutwala emanju wa kabuyonjo namukozesa kyoka omusango agweganye.

Omulamuzi wa kkooti enkulu, Jane Francis Abodo amusindise ku Limanda okutuusa nga 3, Desemba, 2018 omusango okuddamu okuwulirwa.