Abayizi b’essomero lya Luuka Primary School mu disitulikiti y’e Iganga bafunye essannyu, omugagga Brian Kirumira amanyikiddwa nga Bryan White bw’abeetikidde ebintu ebyenjawulo ebiri mu bukadde bw’ensimbi.

Bryan White
Bryan White

Bryan White ssenkulu w’ekibiina ekiyamba abantu ekya Bryan White Foundation, abayizi yabatwalidde ebintu ebyenjawulo omuli paadi ezisobola okukozesebwa abawala okumala omwaka mulamba, ebitabo, amakalaamu, peeni, ebizigo, sukaali n’ebintu ebirala.

Mu kwogerako eri abayizi n’abasomesa, Bryan White yagambye nti bangi ku baana abawala bawanduse mu massomero olw’okubulwa ebikozesebwa nga bagenze mu nsonga era y’emu ku nsonga lwaki Bryan White Foundation yavuddeyo okuyamba okukyusa embeera z’abayizi.

Mungeri y’emu yategezeza nti abayizi abava mu maka amaavu basaanga okusomozebwa okwenjawulo era bangi bavudde mu massomero, nga okuvaayo okuyamba kigenda kuyamba nnyo okutangira embeera eyo n’okubulula abavubuka mu ngeri ezenjawulo omuli okubatangira okunywa enjaga.

Bryan White era asuubiza okwongera okuyamba amassomero, amalwaliro, abavubuka, abantu abalina ebizibu kuba gwe mulamwa lwaki batandikawo, Bryan White Foundation.