• 49
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
    49
    Shares

Abalamuzi ba City Hall mu Kampala bazzeemu okusindika ku limanda mu kkomera e Luzira abasirikale babiri (2) aba Bbanka enkulu eya Uganda abali ku misango gw’okulagajjalira omulimu gwabwe.

Beatrice Kyambadde ne Charles Moro baleteddwa mu kkooti enkya ya leero, okuwuliriza okusaba kwabwe kwebateekayo ku lunnaku Olwokubiri okweyimirirwa ku musango ogubavunanibwa era basimbiddwa mu maaso g’abalamuzi babiri (2).

Kyambadde asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi w’eddaala erisooka Patrick Talisuna ate Moro, mu maaso ga Beatrice Kainza.

Oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Joy Kalungi lusabye kkooti obutayimbula bantu abo kuba abantu abaleteddwa tebabesiga era asabye abalamuzi okugoba okusaba kwabwe.

Abalamuzi bombi balangiridde ku Mmande nga 10, December, 2018 okuwa ensala yabwe.

Kigambibwa Kyambadde ne Moro balagajjalira emirimu gyabwe ne bafulumya ebiwandiiko bya Bbanka enkulu ku biragiro bya Justine Bagyenda eyali akulira okulondola Bbanka z’ebyobusuubuzi, ekiteberezebwa nti  kyavirako Bbanka ezimu okugalwawo.


  • 49
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
    49
    Shares