Omulamuzi wa kkooti enkulu mu Kampala Elizabeth Kabanda avudde mu musango oguvunanibwa abantu 9 ku by’okuwaamba n’okutta Susan Magara.

Magara yambibwa nga 7, February, 2018 ku luguudo lwa Kabaka Anjagala bwe yali akyuse okudda awaka mu bitundu bye Lungujja gye yali apangisa.

Nga wayisewo wiiki ssatu (3), omulambo gwe gwazuulibwa nga February 27, 2018 nga gusuliddwa mu nsiko ku kyalo Kitiko wakati wa Kajjansi ne Kigo ku luguudo lwa Entebbe Express highway.

Abagambibwa okutta
Abagambibwa okutta

Poliisi yakwata abantu 9 omuli Mahad Kasalita, Yusuf Lubega, Hussein Wasswa, Muzamiru Ssali, Hajara Nakandi, Abubaker Kyewolwa, Hassan Kato Miiro, Ismail Bukenya ne Musa Abbas Buvumbo era omulamuzi wa kkooti ku Buganda Road yabasindise mu kkooti enkulu ku misango gy’okuwaamba n’okutta omuntu.

Susan Magara
Susan Magara

Mu kkooti enkulu, omusango gwawereddwa omulamuzi Kabanda kyokka alangiridde nti aguvuddemu kuba alina omukwano ogwamaanyi n’omu ku bavunaanibwa Hajara Nakandi ng’ayinza okulemwa okusala omusango gwo mu mazima n’obwenkanya kyokka alemereddwa okunyonyola enkolagana eri wakati waabwe.

Omusango gwasindikiddwa eri omuwandiisi wa kkooti, era omulamuzi Jane Francis Abodo alondeddwa okuwuliriza omusango ogwo.