Omubaka w’e Kyadondo East, Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine atabukidde ekitongole ekya Poliisi okutekawo embeera okumulemesa okuyimba.

Bobi Wine agamba nti buli mwaka nga 26, December, ku Boxing Day atekateeka ekivvulu ku One Love Beach Busabala nga ne kumulundi guno kitekeddwa okubaayo wadde Poliisi egezaako okumulemesa nga beekwasa obusongasonga.

Mungeri y’emu agambye nti okumulemesa ekivvulu, abantu abasukka 200, poliisi eba ebalemeseza okunoonya ssente okwebezaawo.

Bobi Wine nga yakulembera ekisinde kya “People Power” agamba nti wadde Poliisi etaddewo embeera yonna okumulemesa okufuna ssente, ku Boxing Day alina okuyimbira abawagizi be ku One Love Beach Busabala.

Emilian Kayima
Emilian Kayima

Wabula sabiti ewedde, omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Afande Emilian Kayima yalangirira obukwakulizo buli muntu yenna bwateekeddwa okutukiriza okusobola okutekateeka ekivvulu kyona omwali okuwandikira Poliisi n’okudibwamu kwa IGP Martin Okoth Ochola, okulaga ensonga y’ebyokwerinda ku lunnaku lw’ekivvulu  n’ensonga endala.