Omubaka we Kyadondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine akulembeddemu Pulaani y’okuddamu okuzimbira abatuuze b’omu Lusanja ku lw’e Gayaza amayumba gabwe.

Sabiti ewedde, kkooti enkulu yasazaamu ekiragiro ekyagoba abatuuze abasukka mu 350 olw’okumenya amayumba agawera 160 era mu kiseera kino, abatuuze batandiise okwetekateeka okuddamu okuzimba.

Olunnaku olw’eggulo, Bobi Wine yalambuddeko abatuuze era mu kwogera kwe yakakasiza nti agenda kubakwasizaako mu kuddamu okuzimba era bakwano be ababaka ba Palamenti bawaddeyo obuyambi omuli ssementi, amabaati n’ebintu ebirala.

Mungeri y’emu Bobi Wine asabye Gavumenti okukwata abantu bonna abakulemberamu okumenya abatuuze b’omu Lusanja omuli abasirikale, bawanyondo ba kkooti n’omugagga Medard Kiconco eyakulemberamu okumenya amayumba olw’okumenya amateeka.

Ssentebe w’e Lusanja, Fred Kanyike ategeezezza nti bakooye okusula mu weema kuba abantu balumbiddwa endwadde ezenjawulo, abamu bafudde era asabye Gavumenti okuduukirira abatuuze okusobola okuddamu okuzimba amayumba gabwe.

Kanyike era asabye Gavumenti okunoonya omugagga Kiconco akwatibwe akangavulwe kuba y’emu ku nsonga lwaki abatuuze babonabona.

Ku lunnaku Lwokubiri nga 11, December, 2018 Ssaabawolereza wa Gavumenti, Willian Byaruhanga yakiriza nti ekiragiro ky’okubasengula kyayisibwa mu bukyamu.

Yannyonnyodde nti abaasengulwa balina omusango gwe baaloopa nga bawakanya okusengulwa mu bukyamu era kkooti n’esalawo nti be batuufu.

Ekitongole ekiramuzi yagambye nti kyanoonyereza ku nsonga eno era omulamuzi Rebecca Ester ow’e Nabweru eyayisa ekiragiro ne yeetonda era nga yasindikibwa mu kakiiko akakwasisa empisa okwenyonyolako n’okwewozaako.