Kyaddaki Eddy Kenzo afulumizza ekyasi ky’oluyimba olutumiddwa ‘Don’t Care’ okulaga nti mu Uganda y’omu ku bayimbi abasobodde okuyimirizaawo ekisaawe ky’okuyimba.

Don’t Care, luyimba lwa mukwano era asobodde okulweyambisa okutegeza omukyala nti ebigambo tebirina kubawula wadde okubakyankalanya.

Mu luyimbi, Kenzo asobodde okusaba omukyala okusosowaza nnyo Omutonzi okusobola okuyimirirawo mu buli nsonga wakati wabwe.
Ku luyimbi olwo, bangi ku bawagizi ba Kenzo ku mukutu ogwa Face Book agambye nti asobodde okulweyambisa okwanukula mukyala we Rema Namakula okugonjola obutakaanya wakati wabwe oluvanyuma lwa Rema okuyima ‘Siri Muyembe’.

Mu Uganda, Kenzo ye muyimbi yekka alina ‘Award’ ya BET era yasuubiza okufulumya oluyimba olupya ne vidiyo buli sabiti okutuusa olunnaku olwa Konsati nga 4, January, 2019 ku Serena mu Kampala ng’ajjaguza okuweza emyaka 10 mu kisaawe ky’okuyimba.

Mu myaka 10, Kenzo ye muyimbi mu Uganda asinze okugifunamu kuba asobodde okuwangula Award ezenjawulo, okutunda Uganda mu nsi ezenjawulo, okutumbula talenti z’abantu abalala omuli Triplets Ghetto Kids n’ebirungi ebirala.

Gyebuvuddeko, yategeza nti abantu abamulwanyisa mu kisaawe ky’okuyimba batandiise okweyambisa famire okwagala okumusuula era y’emu ku nsonga lwaki ye n’omukyala Rema balina obutakwatagana.